Ssentebe w’omukago ogutaba amawanga ga naampawengwa oba Non-Aligned Movement, Yoweri Kaguta Museveni, agambye nti ekyaviiriddeko olutalo wakati wa America ne bannamukago baayo aba Yisirayiri okulumba Iran yali nsonga ntono nnyo eyali esobola okugonjoolwa awatali kulwana nga kati ebigenda okuva mu lutalo byakukosa nsi yonna. Bino byabadde bimu ku bigambo bye bweyabadde asiibulula abasiraamu akawungeezi k’eggulo era mufti wa Uganda Sheikh Ramathan Mubajje yasinzidde wano n’amusaba ayimbule abasibe abaasibibwa ku nsonga ezekuusa ku by’obufuzi.#NTVNews #NTVTonight #NTVWeekendEdition
Subscribe to Our Channel
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Connect with us on Messenger via m.me/NTVUganda
Contact us: CustomerCareUg@ug.nationmedia.com




