Kkooti esookerwako e Masaka eragidde akakiiko k’ebyokulonda okuddamu okubala obululu obwakubibwa mu kitundu ky’e Kalungu mu kalulu akaawangulwa munna NUP Joseph Gonzaga Ssewungu. Munne bwe baali ku mbiranye Ismael Ssemakula yeyaddukidde mu kkooti oluvannyuma lw’obutakkiriziganya na byavudde mu kubala kalulu ako mw’agambira nti yabbibwa ebitagambika. Ssewungu yasinga ku Ssemakula obululu 46 bwokka, ekintu Ssemakula ky’alowooza nti oba oli awo singa okubala kwakolebwa bulungi, yandibadde alebeezza Ssewungu. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda




