Omubaka wa Isreal mu Kenya ne Uganda, Gideon Behar, munyikaavu nnyo olwa Iran okutondawo olutalo lw’agamba nti lugenda kukosa nnyo eby’enfuna by’amawanga ag’obuvanjuba bwa Africa. Ono atugambye nti omutawaana gwonna guviira ddala ku kya Iran kutataaganya bya ntambuza ya mafuta okuyita mu kagolomolo ke Hormuz, kye balaba nga kiyinza okuviirako okupaluuka kwe beeyi y’amafuta. Mbu kaakano bano kyebataddeko omulaka, kwekukoma ku Iran gyebalaba nga eyinza okutuusa obulabe ku ggwanga lyabwe.#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda




