Omuserikale w’ekitongole ky’amakomera eyagobwa gyebuvuddeko Lawrence Ampe olw’okuvangayo kaati n’akolokota bakamaabe n’okuvumirira ebitagenda bulungi mu gavumenti, agamba si waakussa mukono okulwanirira obwenkanya n’enfuga egoberera amateeka. Ono era aludde ddaaki n’abotola ekyama ekimuli mu mutima nti ne bweyandibadde akyali mu Uniform y’eggwanga, akalulu ke ye abadde wakakuwa akwatidde NUP bendera Robert Kyagulanyi.Twawayizzaamu naye mu mboozi ey’akafubo ne twongera n’okumanya ebimukwataako.#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit http://www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter http://www.twitter.com/ntvuganda
Like our Facebook page http://www.facebook.com/NTVUganda




